2“Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya nʼebigambo?
3Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka.
5Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye.
7Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza.
9Anziggyeeko ekitiibwa kyange nʼanziggyako nʼengule ku mutwe gwange.
10Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ngʼomuti.
11Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ngʼomu ku balabe be.
12Amaggye ge galumba nʼamaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange.
13Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14Abʼekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde.
15Abagenyi bange nʼabaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga.
16Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira nʼakamwa kange.
17Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini.
18Nʼobulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma.
19ⓩ Mikwano gyange gyonna enfirabulago gyankyawa; abo bennayagalanga banneefuukira.
20Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.
21Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22Lwaki munjigga nga Katonda bwʼanjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
23Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24Singa byawandiikibwa nʼekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe nʼemirembe!
25Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27nze mwene ndimulaba, nʼamaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ngʼeyaayaana munda mu nze!
28Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko yʼemitawaana eri mu ye;’
29nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okwʼekitala, olwo mulyoke mumanye ngʼeriyo okusalirwa omusango.”