1Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye nʼajjiramu.
2Mukama Katonda nʼabuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani nʼamuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”
3Mukama Katonda nʼagamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bwʼatyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”
4Setaani nʼamuddamu nti, “Eddiba olwʼeddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna byʼalina olwʼokuwonya obulamu bwe;
5naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge nʼomubiri gwe olabe oba taakwegaane.”
6Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”
7Awo Setaani nʼava awali Mukama Katonda, nʼalwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere.
8Yobu nʼatandika okweyaguzanga oluggyo ngʼeno bwʼatudde mu vvu.
9Kyokka mukyala we nʼamugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”
10Naye ye nʼamuddamu nti, “Oyogera ngʼomu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”
11Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi
12Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olwʼembeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe.
13Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana nʼekiro nga tewali anyega, olwʼobulumi obungi Yobu bwe yalimu.