Yobu 20:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Zofali Omunaamasi nʼamuddamu nti,

2“Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu kubanga nteganyizibbwa nnyo.

3Mpulidde nga nswadde olwʼokunenya, okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.

4Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,

5nti Enseko zʼomwonoonyi ziba zʼakaseera katono, era nʼessanyu lyʼabatamanyi Katonda terirwawo.

6Newaakubadde ngʼamalala ge gatuuka ku ggulu nʼomutwe gwe ne gutuuka ku bire,

7alizikirira emirembe nʼemirembe nga empitambi ye: abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’

8Abulawo ngʼekirooto, nʼataddayo kulabika; abuzeewo ngʼokwolesebwa kwʼekiro.

9Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba, taliddayo kulaba kifo kye nate.

10Abaana be basaana bakolagane nʼabaavu, emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.

11Amaanyi agʼekivubuka agajjudde amagumba ge, ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.

12 Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke era akukweka wansi wʼolulimi lwe,

13tayagala kukuleka, wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.

14Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda, era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.

15Aliwandula ebyʼobugagga bye yamira; Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.

16Alinywa obutwa bwʼensweera; amannyo gʼessalambwa galimutta.

17Alisubwa obugga, nʼemigga egikulukuta nʼomubisi gwʼenjuki nʼamata.

18Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde; talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,

19kubanga yanyigiriza abaavu nʼabaleka nga bakaaba, yawamba amayumba gʼataazimba.

20Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe, wadde okuwonya nʼebyo bye yeeterekera.

21Tewali kimulekeddwawo kyʼanaalya; obugagga bwe tebujja kusigalawo.

22Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira; alibonaabonera ddala nnyo.

23Ngʼamaze okujjuza olubuto lwe, Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.

24Bwʼalidduka ekyokulwanyisa ekyʼekyuma, akasaale akʼekikomo kalimufumita.

25Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe, omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba. Entiisa erimujjira.

26Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe. Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo, gwokye ebisigadde mu weema ye.

27Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe; ensi erimusitukirako nʼemujeemera.

28Ebintu byʼennyumba biritwalibwa, biribulira ku lunaku lwʼobusungu bwa Katonda.

29Eyo yʼengeri Katonda gyʼasasulamu abakozi bʼebibi, nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>