1Awo Yobu nʼaddamu nʼayogera nti,
2“Muwulirize nʼobwegendereza ebigambo byange, era kino kibazzeemu amaanyi.
3Mungumiikirizeeko nga njogera, oluvannyuma museke.”
3
4“Okwemulugunya kwange nkwʼolekezza muntu? Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5Muntunuulire mwewuunye, mujja kukwata ne ku mumwa.
6Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa; omubiri gwange ne gukankana.
7Lwaki abakozi bʼebibi bawangaala, ne bakaddiwa ne beeyongera nʼamaanyi?
8Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa, ezzadde lyabwe nga balaba.
9Amaka gaabwe gaba nʼemirembe nga temuli kutya; omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10Ennume zaabwe teziremererwa, ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo; obuto ne bubeera mu kuzina.
12Bayimbira ku bitaasa nʼennanga, ne basanyukira eddoboozi lyʼomulere.
13Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana.
14Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe! Tetwegomba kumanya makubo go.
15ⓑ Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe, noolwekyo amagezi gʼabakozi bʼebibi ganneewunyisa.”
16
17“Ettaala yʼabakozi bʼebibi yo, ezikira emirundi emeka? Ennaku ebajjira emirundi emeka? Katonda abatuusaako obulumi, ngʼabasunguwalidde.
18ⓒ Bali ngʼebisasiro ebitwaalibwa empewo; ngʼebisusunku embuyaga bye zitwala.
19Katonda abonereza abaana olwʼekibi kya bakitaabwe. Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira; leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21Kubanga aba afaayo ki ku maka gʼaba alese, nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?”
21
22“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi, kubanga asalira omusango nʼabo abasinga okuba aba waggulu?
23Omusajja omu afiira wʼabeerera owʼamaanyi, nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi, amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25Omusajja omulala nʼafa ngʼalina obulumi ku mutima, nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26Ne beebaka kye kimu mu ttaka, envunyu ne zibabikka bombi.”
26
27“Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza, enkwe ze mwagala okunsalira.
28Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba yʼomusajja owʼamaanyi, eweema abasajja abakozi bʼebibi mwe baabeeranga?’
29Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo? Temukkiriza bye babagamba,
30ⓓ nti omusajja omukozi wʼebibi awona ku lunaku olwʼemitawaana, era awona ku lunaku olwʼekiruyi?
31Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso, ani amusasula ebyo byʼakoze?
32Atwalibwa ku ntaana, era amalaalo ge gakuumibwa.
33Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera, abantu bonna bamugoberera, nʼabalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.”
33
34“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya nʼebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”