1Awo Erifaazi Omutemani nʼaddamu nʼayogera nti,
2“Omuntu ayinza okugasa Katonda? Wadde oyo owʼamagezi ayinza okumuyamba?
3Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?”
3
4“Akukangavvula lwa kumutya era kyava akuvunaana?
5Okwonoona kwo si kunene nnyo? Ebibi byo si bingi nnyo?
6Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, nʼobaleka bwereere.
7ⓔ Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere,
8wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka, omusajja owʼekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko kyʼobawadde; abatalina bakitaabwe nʼobamalamu amaanyi.
10Emitego kyegivudde gikwetooloola. Lwaki entiisa eyʼamangu ekujjira?
11Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako?”
11
12“Katonda tali waggulu mu ggulu? Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13Ate nʼogamba nti, ‘Katonda amanyi ki? Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14Ebire ebikutte bimubikkako, nʼaba ngʼatatulaba bwʼaba atambula mu bifo byʼomu ggulu.’
15Onoosigala mu kkubo eryʼedda abasajja abakozi bʼebibi lye baakwata?
16Baatwalibwa ngʼekiseera kyabwe tekinnatuuka, emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi, noolwekyo neewuunya nnyo amagezi gʼabakozi bʼebibi.
19Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza; abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20‘Ddala abalabe baffe bazikiridde, era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’ ”
20
21“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe; mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gyʼoli.
22Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23Bwʼonodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya, bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24nʼoteeka nʼamayinja go agʼomuwendo mu ttaka, zaabu yo eya Ofiri ku njazi zʼomu mugga,
25awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi.
26Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo.
28Kyʼolisalawo kirikolebwa, era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29Abantu abalala bwe balisuulibwa nʼogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde.
30Alinunula nʼoyo aliko omusango, alinunulwa olwʼobulongoofu bwʼemikono gyo.”