2“Nʼokutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala, omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3Singa nnali mmanyi awʼokumusanga nandisobodde okulaga gyʼabeera!
4Nanditutte empoza yange gyʼali, akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5Nanditegedde kye yandinzizeemu, ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6Yandimpakanyizza nʼamaanyi mangi? Nedda, teyandinteeseko musango.
7Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe nʼemirembe.
8Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo; ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9Bwʼaba akola mu bukiikakkono simulaba, bwʼadda mu bukiikaddyo, simulabako.
10Naye amanyi amakubo mwe mpita, bwʼanaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11Ebigere byange bimugoberedde; ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12Saava ku biragiro byʼakamwa ke. Nayagala ebigambo byʼakamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa.
14Weewaawo ajja kutuukiriza byʼasazzeewo okunjolekeza, era bingi byategese byʼakyaleeta.
15Kyenva mba ne ntiisa nga ndi mu maaso ge; bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange, Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17Naye ekizikiza tekinsirisizza, ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.