1Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye.
3Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ngʼomusingo.
4Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5Endogoyi ezʼomu ddungu nga bwe zeeyisa, nʼabaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere yʼabaana baabwe.
6Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga nʼemizabbibu gyʼaboonoonyi.
7Olwʼokubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo.
8Enkuba yʼoku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olwʼokubulwa we beggama.
9Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere owʼomwavu bamuwamba olwʼebbanja.
10Olwʼokubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa byʼemmere naye basigala tebalidde.
11Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12Okusinda kwʼabantu kuwulirwa mu kibuga, nʼemmeeme zʼabafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gwʼasinzisa musango.
13Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo.
14Omutemu agolokoka nga obudde buzibye nʼatta omwavu nʼali mu kwetaaga; Ekiro abbira ddala.
15Eriiso lyʼomwenzi lirinda buzibe, ngʼagamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ nʼabikka ne ku maaso ge.
16Mu kizikiza mwe basimira amayumba, kyokka emisana baba beggalidde. Tebaagala kitangaala.
17Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obwʼoku makya. Kubanga bakola omukwano nʼebitiisa ebyʼomu nzikiza.
18Bali ngʼebyovu ebiri kungulu ku mazzi, era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi. Tewali musogozi nʼomu alaga mu nnimiro zaabwe ezʼemizabbibu.
19Nga ekyeeya nʼebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga nʼewoomerwa; Tajjukirwenga nate, Omukozi wʼebibi amenyeka ngʼomuti.
21Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala. Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22Naye Katonda awalula abʼamaanyi olwʼobuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe nʼamaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo. Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna. Basalibwa ngʼemitwe gyʼebirimba byʼeŋŋaano.
25Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, nʼafuula okwogera kwange okutaliimu?”