Yobu 26:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yobu nʼaddamu nti,

2“Ngʼoyambye oyo atalina maanyi! Ngʼoyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!

3Ngʼamagezi ga kitalo ago gʼowadde oyo atalina magezi! Ngʼowadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!

4Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo? Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?”

4

5“Abafu kye balimu tekigumiikirizika, nʼabo abali wansi wʼamazzi ne bonna abagabeeramu.

6Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; nʼokuzikiriza tekulina kikubisse.

7Ayanjuluza eggulu eryʼobukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira.

8Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olwʼokuzitoowererwa.

9Abikka obwenyi bwʼomwezi, agwanjululizaako ebire bye.

10Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi gʼennyanja we gayita, ngʼensalo eyawula ekitangaala nʼekizikiza.

11Empagi zʼeggulu zikankana, zeewuunya olwʼokunenya kwe.

12Afuukuula ennyanja nʼobuyinza bwe, nʼasalaasala Lakabu mu bitundutundu nʼamagezi ge.

13Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu, omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.

14Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo kyʼali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kwʼobuyinza bwe?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>