Yobu 27:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Yobu nʼayongera okwogera kwe bwʼati nti,

2“Nga Katonda bwʼali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, Oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,

3gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,

4emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.

5Sirikkiriza nti muli batuufu; okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.

6Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka; omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.”

6

7“Abalabe bange babeere ngʼabakozi bʼebibi, nʼabo abangolokokerako babeere ngʼabatali batuukirivu!

8Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda lyʼaba nalyo ngʼasaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu?

9Katonda awulira okukaaba kwe ngʼennaku emujjidde?

10Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna? Aliyita Katonda ebbanga lyonna?

11Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda; ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.

12Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko, lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?”

13“Eno yʼempeera Katonda gyʼawa abakozi bʼebibi, omugabo omuntu omujoozi gwʼafuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:

14Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala; ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.

15Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.

16Wadde ngʼatereka effeeza ngʼenfuufu, nʼengoye ngʼentuumo yʼebbumba,

17ebyo bye yeeterekera omutuukirivu yʼalibyambala, era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.

18Ennyumba gyʼazimba eribeera ngʼeyʼekiwojjolo; ngʼakasiisira akazimbiddwa omukuumi.

19Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.

20Entiisa erimuzingako ngʼamataba; kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.

21Embuyaga eyʼebuvanjuba emutwalira ddala nʼagenda; emuggya mu kifo kye nʼamaanyi.

22Emukuba awatali kusaasira, ngʼadduka ave mu maanyi gaayo.

23Erimukubira engalo zaayo, nʼemusiiya okuva mu kifo kye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>