Yobu 28:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza, nʼekifo gye balongooseza effeeza.

2Ekyuma kisimibwa mu ttaka, nʼekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.

3Omuntu agoberera enzikiza nʼanoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.

4Asima ekinnya ekiri ewala nʼabantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita.

5Ensi evaamu emmere, naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.

6Safira eva mu mayinja gaayo, era enfuufu yaayo erimu zaabu.

7Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino, wadde nʼamaaso ga kamunye tegarirabanga.

8Ekibinja kyʼempologoma ento tekituukangayo, tewali mpologoma yali eyiseeyo.

9Omuntu ayasa nʼomukono gwe ejjinja eryʼembaalebaale, nʼavuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.

10Asima ensalosalo ku njazi; nʼamaaso ge galaba ebyʼomuwendo byonna.

11Anoonya wansi mu migga, nʼaggyayo ebintu ebyakwekebwa.”

11

12“Naye amagezi gasangibwa wa? Okutegeera kuva wa?

13Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago; tegasangibwa mu nsi yʼabalamu.

14Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’ ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’

15Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi, wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.

16Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri, mu mayinja agʼomuwendo aga onuku oba safiro.

17Zaabu nʼendabirwamu tebiyinza kugenkana: so tegayinza kugeraageranyizibwa nʼamayinja agʼomuwendo.

18Kolali nʼamayinja agʼendabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.

19Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana, tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.”

19

20“Kale amagezi gava ludda wa? Nʼokutegeera kubeera ludda wa?

21Gakwekebwa okuva mu maaso gʼebintu byonna ebiramu, era gakwekeddwa ebinyonyi byʼomu bbanga.

22Okuzikiriza nʼOkufa kwogera nti, ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’

23Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka yʼamanyi gye gabeera,

24kubanga alaba enkomerero yʼensi era alaba ebintu byonna wansi wʼeggulu.

25Bwe yateekawo amaanyi gʼempewo, nʼapima nʼamazzi,

26bwe yateekera enkuba etteeka era nʼekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,

27olwo nʼatunuulira amagezi nʼagalangirira; nʼagateekawo, nʼagagezesa.

28 Nʼagamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, nʼokuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>