1Yobu nʼayongera okwogera nti,
2“Nga nneegomba emyezi egyayita, ennaku Katonda mwe yali nga yʼandabirira,
3ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange, nʼekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4Mu biro we nabeerera owʼamaanyi, omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5Ayinzabyonna bwe yali ngʼakyali nange nʼabaana bange nga bakyanneetoolodde,
6nʼekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo nʼolwazi nga lunfukirira omugga ogwʼamafuta.”
6
7“Bwe nalaganga ku mulyango gwʼekibuga ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali, abakadde ne basituka ne bayimirira;
9abakungu abʼoku ntikko ne balekeraawo okwogera, ne bakwata ne ku mimwa;
10abʼebitiibwa ne balekeraawo okwogera, ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima, era nʼabo abandabanga nga basiima
12kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi, nʼabatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13Omusajja ngʼafa, yʼansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14Ne nnyambala obutuukirivu ngʼengoye zange, obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15Nnali maaso gʼabamuzibe era ebigere byʼabalema.
16Nnali kitaawe wʼabanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17Namenyanga amannyo gʼabakozi bʼebibi, ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.”
17
18“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ngʼomusenyu ogwʼoku nnyanja.
19Omulandira gwange gulituuka mu mazzi, era nʼomusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze, nʼomutego gwange ogwʼakasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ ”
20
21“Abantu beesunganga okumpuliriza, nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera, ebigambo byange byagwanga mpolampola mu matu gaabwe.
23Bannindiriranga ngʼenkuba ne banywa ebigambo byange ngʼenkuba eya ttoggo.
24Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza; ekitangaala kyʼoku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25Nabasalirangawo ekyʼokukola, ne ntuula nga kabaka nʼamaggye ge; nnali ngʼabo ababeesabeesa abakungubazi.”