1ⓙ Oluvannyuma lwʼebyo, Yobu nʼayasamya akamwa ke nʼakolimira olunaku kwe yazaalirwa.
2Nʼagamba nti,
3“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, nʼekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako.
5Ekizikiza nʼekisiikirize ekyʼokufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu nʼennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna eryʼessanyu eririwulirwako.
8Abo abakolimira ennyanja nʼennaku balukolimire, nʼabo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9Emmunyeenye ezʼomu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe byʼoku nkya.
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike.”
10
11“Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era nʼamabeere okugayonka?
13Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde,
14wamu ne bakabaka nʼabakungu abʼensi, abezimbira embiri kaakano amatongo,
15oba nʼabalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16Oba lwaki saaziikibwa ngʼomwana azaaliddwa ngʼafudde, atalabye ku kitangaala?
17Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era nʼabakooye gye bawummulira.
18Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro kyʼoyo abaduumira.
19Abakopi nʼabakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.”
19
20“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21ⓚ era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, nʼakunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ngʼatuuse ku ntaana?
23Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gwʼakomedde?
24Kubanga nkaaba mu kifo kyʼokulya, nʼokusinda kwange kufukumuka ngʼamazzi.
25Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako.
26Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba nʼemirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”