1“Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu nʼembwa ezikuuma endiga zange.
2Amaanyi gʼemikono gyabwe gaali gangasa ki? Abantu abaali baweddemu amaanyi agʼobuvubuka bwabwe,
3abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obwʼekiro.
4Banoga ebiragala ebiwoomerera ngʼomunnyo mu bisaka, enkolokolo ezʼomwoloola yʼemmere yaabwe.
5Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe, ne babaleekaanira gyʼobeera nti, baali babbi.
6Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira, mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
7Baakaabira mu bisaka ngʼensolo ne beekweka mu bikoola byʼemiti.
8Ezzadde lyʼabasirusiru abatalina bwe bayitibwa, baagobebwa mu nsi.
9Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba; nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10abatanjagala abanneesalako, banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11Kaakano Katonda nga bwʼatagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi; beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo; bategera ebigere byange emitego, ne baziba amakubo banzikirize.
13Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali nʼomu abayambye.
14Banzingiza ngʼabayita mu kituli ekigazi, bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15Nnumbiddwa ebitiisa ebyʼamaanyi; ekitiibwa kyange kifuumuuse ngʼekifuuyiddwa empewo, era nʼobukuumi bwange ne bubulawo ngʼekire.”
16“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ezʼokubonaabona zinzijjidde.
17Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma.
18Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ngʼolugoye lwe nneebikka, nʼensibibwa ngʼekitogi kyʼekyambalo kyange.
19Ansuula mu bitosi, ne nfuuka ngʼenfuufu nʼevvu.
19
20“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu; Nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21Onkyukira nʼobusungu; onnumba nʼomukono gwo ogwʼamaanyi.
22Onsitula mu bbanga nʼongobesa empewo, nʼonziza eno nʼeri mu muyaga.
23Mmanyi nga olintuusa mu kufa, mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
23
24“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa ngʼakaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja; bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ezʼokubonaabona kwange zinjolekedde.
28Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29Nfuuse muganda wʼebibe, munne wʼebiwuugulu.
30Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; nʼomubiri gwange gwokerera.
31Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba nʼakalere kange ne kavaamu eddoboozi eryʼebiwoobe.”