1Nakola endagaano nʼamaaso gange; obutatunuulira muwala nʼamaaso agʼobukaba.
2Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu, omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
3Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu, nʼokulaba ennaku ne kujjira abakola ebyʼobujeemu?
4Amakubo gange gonna tagalaba, era tamanyi ntambula yange?
5Obanga natambulira mu bulimba era nga nʼekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
6leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange.
7Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo, nʼomutima gwange ne gugoberera amaaso gange, engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
8kale nsige, omulala abirye, weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
9Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi, oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10kale omukazi wange ase eŋŋaano yʼomusajja omulala, nʼabasajja abalala beebake naye.
11Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve, ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira, ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.
13“Obanga nnali nnyoomye ensonga yʼomuddu wange oba omuddu wange omukazi, bwe banninaako ensonga,
14kale ndikola ntya Katonda bwʼalinnyimukiramu? Era bwʼalimbuuza, ndimuddamu ki?
15Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda? Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?
15
16“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna, era obanga nakaabya nnamwandu;
17obanga nnali ndidde akamere kange nzekka atalina kitaawe nʼatalyako,
18kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe, era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19Obanga nnali ndabye omuntu yenna ngʼafa olwʼokubulwa ebyambalo, oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima, olwʼokumubugumya nʼebyoya byʼendiga zange;
21obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe, kubanga mmanyi nti, mmanyiganye nʼabʼobuyinza,
22kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange, leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23Olwʼokutya okuzikirizibwa Katonda nʼolwʼobukulu bwe, nnali sisobola kukola bintu ngʼebyo.
23
24“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25obanga neeyagala olwʼokuba nʼobugagga obungi, oba olwʼokuba emikono gyange gyʼali ginfunyisizza bingi;
26obanga nnali ntunuulidde enjuba, oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28era nʼekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango olwʼobutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”
29“Obanga nasanyuka ngʼomulabe wange afunye emitawaana oba ne njaguza olwʼebizibu ebyamutuukako,
30sakkiriza kamwa kange kwonoona nga nkolimira obulamu bwe.
31Abantu bʼomu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti, ‘Ani atakkuse nnyama?’
32Tewali mutambuze yasula ku kkubo, kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33Obanga nakweka ekibi kyange ngʼabantu bwe bakola, nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34olwʼokutya ekibiina, nga ntya okuswala mu kika, nʼensirika ne ntya nʼokufuluma ebweru,
35so nga waliwo ayinza okumpulira, leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu; nʼoyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.”
35
36“Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange, nandibyambadde ku mutwe ngʼengule.
37Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere, nandimusemberedde ngʼomulangira.”
37
38“Singa ettaka lyange linkaabirira, nʼebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala nʼamaziga;
39obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula, era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40leka omwennyango gumere mu kifo kyʼeŋŋaano, nʼomuddo gumere mu kifo kya sayiri.”
40Ebigambo bya Yobu byakoma wano.