Yobu 32:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu.

2Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, owʼomu kika kya Laamu, nʼanyiigira nnyo Yobu olwʼokweraba ngʼatalina musango, naye nʼanenya Katonda.

3Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango.

4Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga.

5Naye bwe yalaba ngʼabasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, nʼanyiiga.

6Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi nʼaddamu nʼayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza.

7Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera, nʼemyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.

8Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gwʼoyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.

9Abakadde si be bokka abalina amagezi, wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

9

10“Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize, nange mbabuulire kye mmanyi.

11Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, Nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya ebyʼokwogera.

12Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali nʼomu ku mmwe yalaze Yobu bwʼali omukyamu; tewali nʼomu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.

13Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu owʼamagezi; muleke Katonda amuwangule so si bantu.’

14Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.

14

15“Basobeddwa, tebalina kya kwogera, ebigambo bibaweddeko.

16Kaakano nsirike busirisi, nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?

17Nange nnina ekyʼokwogera, era nnaayogera kye mmanyi,

18kubanga nzijjudde ebigambo, era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.

19Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ngʼamaliba amaggya agalindiridde okwabika.

20Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe, nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.

21Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi, era sijja na kuwaana muntu yenna.

22Kubanga singa mpaaniriza, Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>