Yobu 33:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange: ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.

2Laba nnaatera okwasamya akamwa kange, ebigambo byange bindi ku lulimi.

3Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu; olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.

4Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gwʼoyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.

5Onnyanukule nno bwʼoba osobola, teekateeka ebigambo byo onjolekere.

6Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda. Nange nava mu bbumba.

7Tobaako kyʼotya, sijja kukunyigiriza.

8Ddala ddala oyogedde mpulira, ebigambo byennyini mbiwulidde ngʼogamba nti,

9Ndi mulongoofu sirina kibi, siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.

10Kyokka Katonda anteekako omusango, anfudde omulabe we.

11Asiba ebigere byange mu nvuba, antwala okuba omulabe we.

12Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu. Katonda asinga omuntu.

13Lwaki omwemulugunyiza nti, taddamu bigambo bya muntu yenna?

14Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, nʼawalala nʼayogerera mu ngeri endala, wadde ngʼomuntu tassaayo mwoyo.

15Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro ngʼotulo tungi tukutte abantu nga beebase ku bitanda byabwe,

16aggula amatu gʼabantu, nʼabalabula nʼebyekango,

17alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi nʼamalala,

18aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya, nʼobulamu bwe buleme okuzikirira nʼekitala.

19Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, nʼalumwa olutatadde mu magumba ge,

20obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye nʼekyayira ddala ebyassava.

21Omubiri gwe gugwako ku magumba, nʼamagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,

22emmeeme ye nʼesembera kumpi nʼobunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.

23Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde;

24yandimukwatiddwa ekisa nʼamugamba nti, ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe, mmusasulidde omutango,’

25omubiri gwe guzzibwa buggya ngʼogwʼomwana omuwere, era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ezʼobuvubuka.

26Omuntu asaba Katonda, Katonda nʼamukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda nʼajaguza nʼessanyu, Katonda nʼamuddiza nate ekifo kye ekyʼobutuukirivu.

27Awo omuntu nʼakomawo eri abantu nʼabagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.

28Yanunula emmeeme yange nʼamponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29Bwʼatyo Katonda bwʼakola omuntu emirundi ebiri oba esatu,

30okuzza emmeeme ye ngʼagiggya emagombe, ekitangaala ekyʼobulamu kimwakire.

31Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize; Siriikirira nkubuulire.

32Bwʼoba ngʼolina ekyʼokwogera kyonna, nziraamu; yogera kubanga njagala wejjeerere.

33Bwe kitaba kityo, mpuliriza; sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>