Yobu 34:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja abʼamagezi; Mumpulirize mmwe abayivu.

3Kubanga okutu kugezesa ebigambo ngʼolulimi bwe lugezesa emmere.

4Leka twesalirewo ekituufu; muleke tulondewo ekisaanidde.

4

5“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango, naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.

6Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’

7Musajja ki ali nga Yobu, anywa okunyoomebwa ngʼanywa amazzi?

8Atambula nʼabakozi bʼebibi, mukwano gwʼabo abakola ebitali bya butuukirivu.

9Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa bwʼagezaako okusanyusa Katonda.’

10Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.

11 Asasula omuntu olwʼekyo kyʼaba akoze; nʼamutuusaako ebyo ebimusaanidde olwʼempisa ze.

12Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya. Ayinzabyonna tasaliriza musango.

13Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?

14Singa asalawo nʼatwala omwoyo gwʼomuntu awamu nʼomukka gwe,

15abantu bonna bandizikiriridde wamu, era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16Bwʼoba olina okutegeera, wuliriza kino; wuliriza kye ŋŋamba.

17Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu nʼoyo owʼamaanyi omusango?

18Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ nʼabakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’

19atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bwʼafa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gyʼemikono gye?

20Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi. Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo. Abo abʼamaanyi batwalibwa nʼomukono ogutali gwʼabantu.

20

21“Amaaso ge gatunuulira amakubo gʼabantu; atunuulira buli kigere kye batambula.

22Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize ekyʼamaanyi, ababi gye bayinza okwekweka.

23Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.

24Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya abʼamaanyi nʼateekawo abalala mu kifo kyabwe.

25Olwʼokubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.

26Ababonereza olwʼebikolwa byabwe ebibi abantu bonna nga balaba,

27kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera ne bataddayo kufaayo nʼakatono ku makubo ge gonna.

28Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era nʼawulira okukaaba kwʼabanyigirizibwa.

29Naye bwʼasalawo obutabaako kyʼayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga nʼomuntu abalinako obuyinza bwe bumu;

30aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga, aleme okutega abantu emitego.

31Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona,

32kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,

33olwo Katonda akuddemu nga bwʼoyagala, akuleke ngʼogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe kyʼomanyi.

34Abantu abalina okutegeera mumbuulire, abasajja abagezi abawulira muntegeeze,

35‘Yobu ayogeza butamanya ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’

36Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olwʼokwogera ngʼabasajja abakozi bʼebibi!

37Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, nʼakuba mu ngalo wakati mu ffe, nʼayongera okwogera ngʼawakanya Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>