Yobu 35:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Eriku nʼayongera okwogera nti,

2“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango. Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.

3Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

4Nandyagadde okukuddamu ne mikwano gyo egyo gyʼoli nagyo.

5Tunula eri eggulu olabe; tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.

6Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya? Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?

7Bwʼoba omutuukirivu, kiki kyʼoba omuwadde, oba kiki kyʼaba afunye okuva mu ngalo zo?

8Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe, era nʼobutuukirivu bwo bukwata ku baana bʼabantu.

9Abantu bakaaba olwʼokunyigirizibwa okwʼamaanyi, balaajaanira abʼomukono ogwʼamaanyi.

10Naye tewali nʼomu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange atuwa ennyimba ekiro,

11atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ezʼomu nsiko, era nʼatufuula bagezi okusinga ebinyonyi ebyʼomu nsiko?

12Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira nʼaddamu kukaaba kwʼabasajja abʼamalala abakozi bʼebibi.

13Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako.

14Kale kiba kitya bwʼogamba nti tomulaba, era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge era oteekwa okumulindirira;

15oba nti, ne bwʼasunguwala tabonereza era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.

16Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>