Yobu 36:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage, nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.

3Amagezi ge nnina gava wala, era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.

4Ekyʼamazima ebigambo byange si bikyamu, oyo akakasa byʼamanyi yʼayogera naawe.”

4

5“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu; wʼamaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.

6Talamya bakozi ba bibi, era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.

7Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe eyʼobwakabaka nʼabagulumiza emirembe nʼemirembe.

8Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere nga banywezeddwa nʼemiguwa egyʼokulumwa

9nʼabategeeza ensobi zaabwe, nʼokwonoona kwabwe, nti, beewaggudde,

10aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa nʼabalagira beenenye ekibi kyabwe.

11Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era nʼemyaka gyabwe mu kusanyuka.

12Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa nʼekitala, bafe nga tebalina magezi.”

12

13“Abʼemitima egitatya Katonda baba nʼobukyayi. Ne bwʼabasiba, tebamukaabirira abasumulule.

14Bafiira mu buvubuka bwabwe era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.

15Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, nʼaggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.”

15

16“Akusendasenda okukuggya mu kamwa kʼokubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gyʼemeeza yo ejjudde emmere ennungi.

17Naye kaakano weetisse omugugu ogwʼokusalirwa omusango abakozi bʼebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango nʼobwenkanya byakunyweza.

18Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa; obunene bwʼenguzi buleme okukukyamya.

19Obugagga bwo oba okufuba kwo kwonna binaakuyamba okukuggya mu buyinike?

20Teweegomba budde bwa kiro olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.

21Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu, byʼosinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.”

21

22“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye?

23Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Kyʼokoze si kituufu?’

24Jjukira ngʼoteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba.

25Abantu bonna baagiraba, omuntu agirengerera wala.

26Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe; obungi bwʼemyaka gye tebunoonyezeka.”

26

27“Kubanga akuŋŋaanya amatondo gʼamazzi, agafuuka enkuba etonnya mu bugga;

28ebire bivaamu amazzi gaabyo, enkuba nʼekuba abantu.

29Ani ayinza okutegeera engeri gyʼasaasaanyamu ebire, okubwatuka okuva ku kituuti kye?

30Laba, asaasaanya okumyansa kwʼeggulu, era nʼabikka obuziba bwʼennyanja.

31Eyo yʼengeri gyʼafugamu amawanga, nʼagawa emmere mu bungi.

32Emikono gye agijjuza eraddu, nʼagiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.

33Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, nʼente ne zirangirira okujja kwayo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>