1“Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
2Wuliriza okubwatuka kwʼeddoboozi lye, nʼokuwuluguma okuva mu kamwa ke.
3Asumulula eggulu ne limyansa wansi wʼeggulu wonna, nʼaliragira ligende ku nkomerero yʼensi.
4Kino oluggwa, okuwuluguma kwʼeddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka nʼeddoboozi lye eryʼomwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
5Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri eyʼekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
6Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’ ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
7Emirimu gya buli muntu giyimirira, buli omu nʼalyoka amanya amaanyi ga Katonda.
8Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo, ne zigenda zeekukuma.
9Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo, nʼobunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda nʼamazzi amangi ne gekwata kitole.
11Ebire abijjuza amatondo gʼamazzi, nʼasaasaanya okumyansa kwʼeggulu.
12Byetooloolatooloola nga yʼabiragira, ne bituukiriza byonna byʼabiragira, ku nsi yonna okubeera abantu.
13Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.”
13
14“Wuliriza kino Yobu; Sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda ebyʼettendo.
15Omanyi Katonda engeri gyʼalagiramu ebire, nʼaleetera eggulu okumyansa?
16Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula gʼemirimu gyʼoyo eyatuukirira mu kumanya?
17Ggwe alina ebyambalo ebibuguma, ensi bwʼeba ngʼekkakkanyizibbwa embuyaga ezʼobukiikaddyo,
18oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu, eryaguma ne libeera ngʼendabirwamu ensanuuse?”
18
19“Tubuulire kye tunaamugamba; tetusobola kuwoza nsonga zaffe gyʼali olwʼekizikiza kye tulimu.
20Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera? Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21Kaakano tewali nʼomu ayinza kutunula mu njuba, olwʼengeri gyʼeyakamu ku ggulu, ngʼempewo emaze okuyita, nʼeyelula ebire.
22Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa ekyʼamaanyi.
23Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24Noolwekyo abantu bamutya, takitwala ngʼekikulu olwʼabo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”