1Mukama nʼaddamu Yobu ngʼayita mu muyaga, nʼayogera nti,
2“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, nʼebigambo ebitaliimu magezi?
3Yambala ebyambalo byo ngʼomusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu.”
3
4“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gyʼensi? Mbuulira bwʼoba otegeera.
5Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ngʼomanyi! Oba ani eyagipima nʼolukoba?
6Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7Emunyeenye ezʼoku makya bwe zaali ziyimba, era nʼabaana ba Katonda bonna nga baleekaana olwʼessanyu,
8ani eyasiba enzigi nʼaggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo?”
8
9“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyʼabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10bwe nʼabiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa nʼenzigi,
11bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe agʼamalala we ganaakoma,
12oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi, oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13eryoke ekwate ensi wʼekoma eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14Ensi eggyayo ebyafaayo byayo nʼeba ngʼebbumba wansi wʼakabonero, ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15Abakozi bʼebibi bammibwa ekitangaala kyabwe, nʼomukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.”
15
16“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja wʼesibuka, oba nʼolaga mu buziba bwʼennyanja?
17Wali obikuliddwa enzigi zʼemagombe? Oba wali olabye enzigi zʼekisiikirize kyʼokufa?
18Wali otegedde obugazi bwʼensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi.”
18
19“Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa? Nʼekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20Ddala, osobola okubitwala gye bibeera? Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21Ddala oteekwa okuba ngʼobimanyi, kubanga wali wazaalibwa dda!”
21
22“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa, oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23Bye nterekera ebiseera ebyʼemitawaana, bikozesebwe mu nnaku ezʼentalo nʼokulwana?
24Kkubo ki erituusa ekitangaala kyʼomusana gye kisaasaanira, oba empewo eyʼebuvanjuba gyʼesaasaanira ku nsi?
25Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita, oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera, eddungu omutali muntu yenna,
27nʼokufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika, nʼokulimezaako omuddo?
28Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo agʼomusulo?
29Omuzira guva mu lubuto lwʼani? Ani azaala obutiti obukwafu obwʼomu ggulu,
30amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ngʼamayinja, ne kungulu kwʼobuziba ne kukwata?”
30
31ⓗ “Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga, oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ngʼekiseera kyazo kituuse, oba okuluŋŋamya eddubu nʼabaana balyo?
33Omanyi amateeka nʼobufuzi bwʼeggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bwʼalyo oba obwa Katonda ku nsi?”
33
34“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire, olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke? Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36Ani eyateeka amagezi mu mutima gwʼomuntu, oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37Ani alina amagezi agabala ebire? Ani ayinza okuwunzika ebibya byʼamazzi ebyʼomu ggulu,
38enfuufu ngʼefuuse ettaka ekkalu, era amafunfugu ne geegattira ddala?”
38
39“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira kyʼeneerya, oba okuliisa empologoma nʼozimalako enjala,
40bwe zeezinga mu mpuku zaazo, oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”