Yobu 39:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1“Omanyi ebiro embuzi zʼoku nsozi mwe zizaalira? Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?

2Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale? Omanyi obudde mwe zizaalira?

3Zikutama ne zizaala abaana baazo, ne ziwona obulumi bwʼokuzaala.

4Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale, batambula ne bagenda obutadda.”

4

5“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo? Ani eyasumulula emiguwa gyayo,

6gye nawa ensi eyʼomuddo okuba amaka gaayo, nʼensi eyʼomunnyo okubeerangamu?

7Esekerera oluyoogaano lwʼekibuga, tewuliriza kulekaana kwʼabavuzi ba bidduka.

8Ebuna ensozi, lyʼeddundiro lyayo, ngʼenoonya ekintu kyonna ekibisi.”

8

9“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo, nʼesula ekiro mu kisibo kyo?

10Oyinza okugisiba ku muguwa nʼogirimisa olubimbi? Eyinza okukuvaako emabega ngʼerima mu kiwonvu.

11Oyinza okugyesiga olwʼamaanyi gaayo amangi? Oyinza okugirekera emirimu gyo egyʼamaanyi?

12Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo eyʼempeke, oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?”

12

13“Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja, naye ebiwaawaatiro nʼebyoya bya kalooli tebiraga kisa.

14Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka, nʼegaleka ne gabugumira mu musenyu,

15ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa, era nga ensolo eyʼomu nsiko eyinza okugalinnya.

16Obwana bwayo ebuyisa bubi ngʼobutali bwayo gyʼobeera nti, yazaalira bwereere.

17Kubanga Katonda teyagiwa magezi wadde okutegeera.

18Ate bwe yanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke esoomooza embalaasi nʼomugoba waayo.”

18

19“Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?

20Ggwe ogisobozesa okubuuka ngʼenzige nʼekanga nʼokukaaba kwayo okwʼentiisa?

21Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olwʼamaanyi gaayo, nʼeryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.

22Esekerera okutya, nʼeteba na kigitiisa. Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.

23Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo, awamu nʼeffumu erimasamasa, nʼakasaale.

24Mu busungu obungi emira ettaka, tesobola kusigala mu kifo kimu ngʼekkondeere livuze.

25Ekkondeere bwe livuga nʼegamba nti, ‘Awo!’ Nʼewunyiriza olutalo olukyali ewala, nʼewulira nʼokuleekaana kwa baduumizi bʼamaggye.”

25

26“Amagezi go ge gabuusa kamunye, nʼayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?

27Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga, era nʼezimba nʼekisu kyayo waggulu ennyo?

28Ku lwazi kwʼezimba amaka gaayo ekiro nʼesula okwo, ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.

29Eyo gyʼekettera omuyiggo gwʼeneerya, eriiso lyayo ligulengerera wala.

30Obwana bwayo bunywa omusaayi, era awali emirambo wʼebeera.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>