Yobu 4:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Erifaazi Omutemani nʼayanukula ngʼagamba nti,

2“Omuntu bwʼanaayogera naawe onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi?

3Laba, wayigiriza bangi, emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.

4Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa, era ngʼozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.

5Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi; kikutte ku ggwe nʼoggwaawo!

6Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo, nʼobwesimbu bwo si lyʼessuubi lyo?”

6

7“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde? Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?

8Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu, bakungula bizibu.

9Bazikirizibwa omukka Katonda gwʼassa, bamalibwawo obusungu bwe.

10Okuwuluguma kwʼempologoma, nʼeddoboozi lyʼempologoma enkambwe, nʼamannyo gʼempologoma ento gamenyeka.

11Empologoma eyʼamaanyi ezikirira olwʼokubulwa omuyiggo, nʼobwana bwʼempologoma busaasaana.”

11

12“Nategeezebwa ekigambo ekyʼekyama, ne nkitegera okutu.

13 Wakati mu birowoozo nʼokwolesebwa kwʼekiro ngʼotulo otungi tukutte omuntu,

14okutya nʼokukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.

15Omwoyo gwʼayita mu maaso gange, obwoya bwʼoku mubiri gwange ne buyimirira,

16Ne buyimirira butengerera, naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo, nʼekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro, ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,

17Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda? Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?

18Obanga abaddu be tabeesiga, nga bamalayika be abalanga ensobi

19kale kiriba kitya, abo abasula mu zʼebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu, ababetentebwa nʼokusinga ekiwojjolo?

20Bamalibwawo wakati wʼamakya nʼakawungeezi, bazikirira emirembe nʼemirembe awatali abafaako.

21Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda, ne bafa ngʼabasirusiru.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>