Yobu 40:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Yobu nti,

2“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”

3Awo Yobu nʼaddamu Mukama nti,

4“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko nʼengalo.

5Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”

6Awo Mukama ngʼali mu muyaga ogwʼamaanyi nʼaddamu Yobu nti,

7“Weesibe engoye zo onywere ngʼomusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu.

8“Onojjulula ensala yange eyʼemisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?

9Olina omukono ngʼogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ngʼerirye?

10Kale nno yambala ekitiibwa nʼobukulu weesibe ekitiibwa nʼokusukkuluma osukkulume.

11Yolesa obusungu bwʼekiruyi kyo otunuulire buli wʼamalala omusse wansi.

12Tunuulira buli musajja owʼamalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi bʼebibi obabetentere we bali.

13Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.

14Nange kennyini ndyoke nzikirize, ngʼomukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”

14

15“Laba envubu gye natonda nga ggwe, erya omuddo ngʼente,

16ngʼerina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyayo amaanyi mangi mu binywa byʼolubuto lwayo.

17Ewuuba omukira gwayo ne guba ngʼomukira gwʼomuvule Ebinywa byʼebisambi byayo byakwatagana nnyo.

18Amagumba gaayo gali ngʼenseke ezʼebikomo; amagulu nʼemikono ngʼemitayimbwa.

19Ebalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyagitonda asobola okugisemberera nʼekitala kye.

20Weewaawo ensozi zigireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ezʼomu nsiko zonna gye zizannyira.

21Wansi wʼebisiikirize byʼemiti egyʼamaggwa, we yeebaka, ne yeekweka mu bitoogo ne mu bitosi.

22Ebisiikirize byʼemiti bigibikkako, emiti egiri ku mabbali gʼomugga ne gigibikkako.

23Laba omugga ne bwe gusiikuuka teyeekanga; eba nywevu, Yoludaani ne bwajjula nʼabooga.

24Eriyo omuntu yenna ayinza okugikwata, oba okuyuza ennyindo yaayo nʼakasaale?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>