1Awo Yobu nʼaddamu Mukama nti,
2
3
4
5
6
7Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, nʼagamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ngʼomuddu wange Yobu bwʼakoze.
8Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, nʼendiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, nʼomuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ngʼobusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ngʼomuddu wange bwʼakoze.”
9Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama nʼakkiriza okusaba kwa Yobu.
10Awo Mukama nʼaggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama nʼawa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.
11Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja nʼabo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo nʼamuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, nʼempeta ya zaabu.
12Awo Mukama nʼawa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo nʼokusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, nʼeŋŋamira kakaaga, ne ziseddume zʼente lukumi, nʼendogoyi enkazi lukumi.
13Era Mukama nʼamuwa nʼabaana aboobulenzi musanvu, nʼaboobuwala basatu.
14Omuwala owʼolubereberye nʼamutuuma Yemima, nʼowokubiri nʼamutuuma Keeziya, nʼowookusatu nʼamutuuma Keremukappuki, nʼaboobulezi musanvu.
15Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe nʼabawa omugabo ogwʼebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.
16Oluvannyuma lwʼebyo, Yobu nʼawangaala emyaka kikumi mu ana; nʼalaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe.
17Nʼoluvannyuma nʼafa ngʼakaddiyidde ddala ngʼawezezza emyaka mingi.