1Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gwʼonoolaajaanira?
2Obukyayi butta atalina magezi, nʼobuggya butta omusirusiru.
3Ndabye abasirusiru nga banywevu, naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
4Abaana baabwe tebalina bukuumi, babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
5Omuyala alya amakungula gaabwe era atwala nʼagʼomu maggwa era awankirawankira ebyʼobugagga byabwe.
6Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi, wadde obuzibu okuva mu ttaka,
7wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku, ngʼensasi bwe zibuuka waggulu.
8Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange.
9Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika.
10Atonnyesa enkuba ku nsi, nʼaweereza amazzi mu byalo.
11Ayimusa abo abanyigirizibwa nʼabo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12Aziyiza enkwe zʼababi, emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13ⓜ Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe, nʼenkwe zaabwe nʼaziziyiriza ddala.
14Ekizikiza kibabuutikira emisana, ne bawammanta mu ttuntu ngʼekiro.
15Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gwʼabo abʼamaanyi, nʼabawonya ekitala kyabwe.
16Abaavu ne balyoka baba nʼessuubi, nʼakamwa kʼabatali benkanya ne kazibibwa.
16
17ⓝ Alina omukisa omuntu Katonda gwʼabuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kwʼoyo Ayinzabyonna.
18ⓞ Kubanga ye yʼafumita ate era yʼanyiga, yʼalumya era yʼawonya.
19Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga. Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20Mu njala alikuwonya okufa, era anaakuwonyanga mu lutalo olwʼekitala.
21Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe, era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gyʼoli.
22Oliseka ngʼokuzikirira nʼenjala bizze, era tootyenga nsolo nkambwe ezʼoku nsi.
23Onoobanga nʼenkolagana nʼamayinja agʼomu nnimiro, era onoobanga nʼemirembe awali ensolo enkambwe.
24Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe; era ebyʼobugagga byo olibibala nʼolaba nga tewali kibuzeeko.
25Olimanya ngʼezzadde lyo liriba ddene, ne bazzukulu bo baliba bangi ngʼomuddo ogwʼoku nsi.
26Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala, ngʼeŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.