2“Singa okweraliikirira kwange, nʼokubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3Weewaawo byandisinze omusenyu gwʼennyanja okuzitowa; ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4ⓟ Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze nʼomwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange.
5Entulege ekaaba awali omuddo, oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo, oba amazzi gʼeggi okubaamu akawoomerera?
7Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako, biri ngʼemmere etangasa.”
7
8“Singa Katonda ampa kye nsaba, nʼampa kye nsuubira,
9ⓠ yandisiimye okumbetenta ne mmalibwawo omukono gwe.
10Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe nʼessuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12Amaanyi gange ga mayinja oba omubiri gwange gwa kikomo?
13Mu mazima sirina maanyi nʼobusobozi bwanzigwako.
14Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15Baganda bange tebeesigika, bali ngʼakagga akabooga ate ne kakalira,
16akaddugalirira buli lwe kakwata, ngʼomuzira,
17ate ne kaggwaawo buli lwe wabaawo ebbugumu.
18Ebibinja byʼabatambuze we biviira ku mugendo ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19Abatambuze bʼe Tema banoonya, bo abʼe Seeba ne balindirira nʼessuubi.
20Baalina essuubi naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21Kaakano bwe mundabye ne mutya ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’ oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku byʼobugagga bwammwe,
23okumponya nve mu mukono gwʼomulabe, nʼokumpeerayo ekintu mpone emitego gyʼabakambwe?’ ”
23
24“Njigiriza nange nʼaba musirise; ndaga we nsobezza.
25Ebigambo ebyamazima nga bya bulumi! Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo byʼomuntu ali obubi okuba ngʼempewo?
27Mukubira ne bamulekwa akalulu ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.”