Yobu 7:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1“Ebiseera byʼomuntu ku nsi, tebyagerebwa? Ennaku ze tezaagerebwa nga ezʼomupakasi?

2Ngʼomuddu eyeegomba ekisiikirize okujja, ngʼomupakasi bwe yeesunga empeera ye;

3bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egyʼokubonaabona, ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.

4Bwe ngalamira neebake, njogera nti Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi? Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.

5Omubiri gwange gujjudde envunyu nʼebikakampa, nʼolususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.

5

6“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma kyʼomulusi wʼengoye bwʼatambuza kyʼalusisa engoye ze; era zikoma awatali ssuubi.

7Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka, amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.

8Eriiso lyʼoyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba; amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.

9Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bwʼatyo nʼaziikwa mu ntaana talivaayo.

10Taliddayo mu nnyumba ye, amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.

11Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kwʼomutima gwange; nzija kwemulugunyiza mu bulumi bwʼemmeeme yange.

12Ndi nnyanja oba ndi lukwata owʼomu buziba, olyoke onkuume?

13Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe, ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;

14nʼolyoka ontiisa nʼebirooto era nʼonkanga okuyita mu kwolesebwa.

15Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga, nfe okusinga okuba omulamu.

16Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna. Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.

17 Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza, nʼomulowoozaako?

18Bwʼotyo nʼomwekebejja buli makya, nʼomugezesa buli kaseera?

19Olituusa ddi nga tonvuddeeko nʼondeka ne mmira ku malusu?

20Nyonoonye; kiki kye nakukola, ggwe omukuumi wʼabantu? Lwaki onfudde nga akabonero akʼobulabe gyʼoli, ne neefuukira omugugu?

21 Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange, nʼoggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana; era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>