Yobu 8:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Birudaadi Omusukusi nʼaddamu nʼagamba nti,

2“Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino byʼoyogera nʼakamwa ko binaakoma ddi okuba ngʼempewo eyʼamaanyi?

3Katonda akyusakyusa mu nsala ye? Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?

4Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama, nʼabawaayo eri empeera yʼekibi kyabwe.

5Kyokka bwʼonoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,

6bwʼonooba omulongoofu era owʼamazima, ddala ddala anaakuddiramu nʼakuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.

7Wadde ngʼentandikwa yo yali ntono, embeera yo eyʼenkomerero ejja kuba nnungi ddala.

8 Buuza ku mirembe egyʼedda, era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;

9Kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ngʼekisiikirize.

10Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe oba byʼokutegeera kwabwe?

11Ebitoogo biyinza okumera awatali bitosi?

12Biba bikyakula nga tebinnasalibwa, bikala mangu okusinga omuddo.

13Bwʼetyo enkomerero bwʼebeera eyʼabo bonna abeerabira Katonda, essuubi lyʼabatatya Katonda bwe libula.

14Ebyo bye yeesiga byatika mangu, ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!

15Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.

16“Ali ngʼekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana, nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;

17emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu yʼamayinja, nga ginoonya ekifo mu mayinja.

18Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo, ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.

19Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.

20Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gwʼabakola ebibi.

21Ajja kuddamu ajjuze akamwako enseko, nʼemimwa gyo amaloboozi agʼessanyu.

22Abalabe bo balijjula obuswavu, era nʼennyumba zʼabakozi bʼebibi zirimalibwawo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>