Yobu 9:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Yobu nʼalyoka addamu nti,

2 “Ddala nkimanyi nga kino kituufu. Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?

3Wadde ngʼomuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.

4Amagezi ge gansusso, amaanyi ge mangi nnyo; ani eyali amuwakanyizza nʼavaayo nga taliiko binuubule?

5Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde era nʼazivuunika ngʼasunguwadde.

6Ensi aginyeenya nʼeva mu kifo kyayo era nʼakankanya empagi zaayo.

7Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira nʼalemesa ekitangaala kyʼemmunyeenye okulabika.

8Ye yekka abamba eggulu era nʼatambulira ku mayengo gʼennyanja.

9 Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, nʼebibinja ebyʼemunyeenye ebyʼobukiikaddyo.

10Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, nʼakola nʼebyamagero ebitabalika.

11Bwʼayita we ndi sisobola kumulaba, bwʼampitako, sisobola kumutegeera.

12Bwʼaba alina kyʼaggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki kyʼokola?

13Katonda taziyiza busungu bwe; nʼebibinja bya Lakabu byakankanira wansi wʼebigere bye.

14Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?

15Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu, mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.

16Ne bwe na ndimukoowodde nʼampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera nʼampuliriza.

17Yandimenyeemenye mu muyaga nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.

18Teyandindese kuddamu mukka naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.

19Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi. Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?

20Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde. Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.

20

21“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa, sikyefaako, obulamu bwange mbunyooma.

22Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza bonna abataliiko musango awamu nʼabakozi bʼebibi.

23Kawumpuli bwʼaba asse mbagirawo, Mukama asekerera okubonaabona kwʼabatalina musango.

24Ensi yaweebwayo mu mukono gwʼabakozi bʼebibi. Abikka ku maaso gʼabagiramula. Bwʼaba nga si Mukama, kale ani?

25Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi, zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.

26Zifuumuuka ngʼamaato agʼebitoogo[6] agadduka ennyo, ngʼempungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.

27Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange, oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,

28ne neekokkola okubonaabona kwange, mmanyi nga Mukama tombale ngʼataliiko musango.

29Omusango gunsinze, lwaki nteganira obwereere?

30Ne bwe nandinaabye sabbuuni nʼengalo zange ne nzitukuza,

31era wandinsudde mu kinnya, nʼengoye zange zennyini ne zinneetamwa.

32Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu, era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga zʼamateeka.

33Tewali mutabaganya ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,

34eyandizigyeko omuggo gwa Katonda entiisa ye nʼerekeraawo okunzijira.

35Olwo nno nandyogedde nga simutya; naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>