Yokaana 1:1-51 LGCB2014 - Bible AI

1Kigambo yaliwo ngʼensi tennatondebwa. Kigambo[1] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.

2Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

3Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.

4Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu.

5Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

6Ne walabika omuntu ngʼayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma,

7eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye.

8Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze ebyʼOmusana.

9Kristo ye yali Omusana, omusana ogwʼamazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.

10Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera.

11Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza.

12Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

13Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

14Kigambo nʼafuuka omubiri, nʼabeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ngʼekyʼoyo omu yekka eyava eri kitaffe ngʼajjudde ekisa nʼamazima.

15Yokaana Omubatiza yamwogerako, ngʼalangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ”

16Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa.

17Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa nʼamazima.

18Tewali nʼomu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

19Bino byʼebigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze bʼAbayudaaya bwe baamutumira bakabona nʼAbaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”

20Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” Yokaana Omubatiza nʼaddamu nti, “Nedda, si nze ye.” Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?” Nʼaddamu nti, “Nedda.”

22Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?”

23Nʼabaddamu nti,

23“Nze ndi ddoboozi lyʼoyo ayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼasinziira mu ddungu nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”

24Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo.

25Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26Yokaana nʼaddamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi,

27anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”

28Ebyo byali Besaniya, emitala wʼomugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

29Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza nʼalaba Yesu ngʼajja, nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga owa Katonda aggyawo ebibi byʼensi.

30Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’

31Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza nʼamazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32Awo Yokaana Omubatiza nʼabategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ngʼakka okuva mu ggulu ngʼali ngʼejjiba nʼabeera ku Yesu,

33nʼabagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bwʼolabanga Mwoyo Mutukuvu ngʼakka nʼabeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’

34Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

35Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde nʼabayigirizwa be babiri,

36Yesu nʼayitawo ngʼatambula. Yokaana nʼamutunuulira enkaliriza nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga wa Katonda.”

37Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu.

38Yesu bwe yakyuka nʼabalaba nga bamugoberera nʼababuuza nti, “Mwagala ki?” Ne bamuddamu nti, “Labbi, (ekitegeeza nti Omuyigiriza) obeera wa?”

39Nʼabaddamu nti, “Mujje mulabeyo.” Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ngʼessaawa kkumi ezʼolweggulo okutuusa akawungeezi.

40Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ngʼayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero.

41Awo Andereya nʼagenda anoonya muganda we Simooni nʼamugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo).

42Andereya nʼatwala Simooni eri Yesu. Yesu bwe yeetegereza Simooni, nʼamugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.

43Ku lunaku olwaddirira, Yesu nʼagenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo nʼamugamba nti, “Ngoberera.”

44Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero.

45Firipo bwe yalaba Nassanayiri, nʼamugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu owʼe Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46Nassanayiri nʼamuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu nʼagamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?” Yesu nʼamugamba nti, “Firipo bwʼabadde tannakutuukako, nkulabye ngʼoli wansi wʼomutiini.”

49Nassanayiri nʼamuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50Awo Yesu nʼamugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti Nkulabye ngʼoli wansi wʼomutiini? Oliraba nʼebisinga awo obukulu.

51Ddala ddala nkugamba nti Oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana wʼOmuntu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>