12Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bwʼalaba omusege nga gujja adduka nʼaleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
13Akola atyo kubanga mupakasi, so nʼendiga tazifaako.
14“Nze ndi musumba mulungi, nʼendiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
15Nga Kitange bwʼammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olwʼendiga.
16Nnina nʼendiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba nʼomusumba omu.
36ate Nze, Kitange gwe yatukuza nʼantuma mu nsi, lwaki mugamba nti Avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda?
37Obanga sikola ebyo Kitange byʼayagala nkole, kale temunzikiriza;
38naye obanga nkola byʼayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”
39Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40Nʼaddayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, nʼabeera eyo.
41Abantu bangi ne bajja gyʼali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.”