Yokaana 11:1-57 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya nʼalwala. Besaniya kyʼekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali.

2Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta agʼakaloosa ku bigere nʼabisiimuuza enviiri ze.

3Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gwʼoyagala ennyo mulwadde nnyo.”

4Naye Yesu bwe yakitegeera nʼagamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era nʼokuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.”

5Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde nʼayongera nʼasigala we yali

6nʼamalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali.

7Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo nʼagamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”

8Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gyʼodda?”

9Yesu nʼabaddamu nti, “Essaawa ezʼemisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bwʼatambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba.

10Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”

11Bwe yamala okwogera ebyo nʼabagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”

12Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.”

13Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti Ayogera ku kwebaka tulo.

14Awo nʼalyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde.

15Naye ku lwʼobulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gyʼali.”

16Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo[3] nʼagamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”

17Bwe baatuuka e Besaniya Yesu nʼasanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana.

18Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu.

19Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olwʼokufiirwa mwannyinaabwe.

20Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, nʼagenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu nʼasigala mu nnyumba ngʼatudde.

21Awo Maliza nʼagamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.

22Era kaakano mmanyi nti Buli kyʼonoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”

23Yesu nʼagamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”

24Maliza nʼamuddamu nti, “Mmanyi nti Alizuukira ku lunaku olwʼenkomerero.”

25Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu,

26na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe nʼemirembe. Ekyo okikkiriza?”

27Maliza nʼamugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti Ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

28Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, nʼava eri Yesu nʼagenda eri Maliyamu nʼamuzza ku bbali mu kyama ngʼagamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.”

29Maliyamu olwawulira ekyo nʼasitukiramu nʼagenda eri Yesu.

30Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga.

31Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ngʼayimiridde mangu ngʼafuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.

32Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu nʼafukamira ku bigere bye, nga bwʼagamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”

33Yesu bwe yamulaba ngʼakaaba era nʼAbayudaaya abaali naye nga bakaaba nʼanyolwa mu mutima, nʼajjula obuyinike.

34Nʼabuuza nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”

35Yesu nʼakaaba amaziga.

36Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ngʼabadde amwagala nnyo!”

37Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”

38Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. Nʼatuuka ku ntaana. Yali mpuku ngʼeggaliddwawo nʼejjinja.

39Yesu nʼagamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina wʼomufu, nʼamugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”

40Yesu nʼamuddamu nti, “Saakugambye nti Bwʼonokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”

41Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼagamba nti, “Kitange nkwebaza olwʼokumpulira.

42Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olwʼabantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti Ggwe wantuma.”

43Bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Laazaalo fuluma.”

44Awo Laazaalo nʼava mu ntaana, ngʼamagulu ge nʼemikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga nʼekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu nʼabagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

45Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu kyʼakoze ne bamukkiriza.

46Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.

47Awo bakabona abakulu nʼAbafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi.

48Bwe tumuleka bwʼatyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, nʼekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu nʼeggwanga lyaffe.”

49Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, nʼabagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi.

50Temulaba nti Kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”

51Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera ebyʼobunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga,

52ate si ggwanga lyokka naye nʼokukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.

53Okuva ku lunaku olwo abakulembeze bʼAbayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.

54Noolwekyo, Yesu nʼalekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula nʼavaayo nʼalaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, nʼabeera eyo nʼabayigirizwa be.

55Embaga yʼAbayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogwʼokwetukuza ngʼembaga tennatuuka.

56Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?”

57Bakabona abakulu nʼAbafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bwʼamanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>