1Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gyʼEmbaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu nʼajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza.
2Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza nʼaweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
3Awo Maliyamu nʼaddira eccupa erimu amafuta amalungi agʼakaloosa agʼomugavu, agʼomuwendo omungi, nʼagafuka ku bigere bya Yesu nʼabisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna nʼejjula akaloosa kʼamafuta ago.
4Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali owʼokumulyamu olukwe, nʼagamba nti,
5“Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?”
6Yayogera bwʼatyo si lwa kuba nti Yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo yʼensimbi.
7Yesu nʼalyoka abagamba nti,
8
9Awo ekibiina kinene ekyʼAbayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye nʼokulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza.
10Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo,
11kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
12Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga eyʼOkuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi,
13
14Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento nʼagyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,
15
16Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ngʼazuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo.
18Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola.
19Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
20Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga eyʼOkuyitako
21ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida ekyʼomu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.”
22Firipo nʼategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.
23Yesu nʼabaddamu nti,
24
25
26
27
28
29Ekibiina kyʼabantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu yʼebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika yʼayogedde naye.”
30Yesu nʼabagamba nti,
31
32
33Ekyo yakyogera ngʼategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.
34Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana wʼOmuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gwʼoyogerako?”
35Yesu nʼabaddamu nti,
36
37Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza.
38
39Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera nʼagamba nti,
40
41Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era nʼamwogerako.
42Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze bʼAbayudaaya abaamukkiriza. Naye olwʼokutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
43Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44Awo Yesu nʼasitula ku ddoboozi nʼagamba nti,
45
46
47
48
49
50