Yokaana 13:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Ku lunaku olukulembera Embaga eyʼOkuyitako, Yesu yamanya ngʼekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

2Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo ekyʼokulya mu Yesu olukwe.

3Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gyʼadda,

4nʼasituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato,

5nʼateeka amazzi mu bensani, nʼatandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bwʼabasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

6Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero nʼamugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

7Yesu nʼamuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka nʼogitegeera.”

8Peetero nʼamuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu nʼamugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

9Simooni Peetero nʼamugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza nʼemikono nʼomutwe.”

10Yesu nʼamuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.”

11Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere nʼayambala omunagiro gwe, nʼaddayo nʼatuula, nʼabagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde?

13Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi.

14Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere.

15Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.

16Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era nʼoyo atumibwa tasinga oli amutumye.

17Bwe mumanya ebintu bino muba nʼomukisa bwe mubikola.

18 Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’

19Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize.

20Ddala ddala mbagamba nti Buli asembeza gwe ntuma, ngʼasembezezza Nze, era asembeza Nze ngʼasembezezza oyo eyantuma.”

21Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼalumwa nnyo mu mwoyo, nʼagamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”

22Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gwʼayogerako.

23Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi nʼekifuba kya Yesu,

24Simooni Peetero nʼamutemyako ngʼamugamba nti, “Mutubuulize gwʼayogerako.”

25Kale bwe yaddayo okugalamira ngʼaliraanye ekifuba kya Yesu, nʼamubuuza nti, “Mukama waffe, gwʼoyogerako ye ani?”

26Yesu nʼaddamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo nʼakwata ekitole, nʼakikoza nʼakiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni.

27Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani nʼamuyingiramu.

27Awo Yesu nʼamugamba nti, “Kyʼokola kikole mangu!”

28Ku baali balya tewaali nʼomu eyategeera kyeyava amugamba bwʼatyo.

29Abamu baalowooza nti Nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti Abeeko byʼagabira abaavu.

30Yuda olwafuna ekitole, amangwago nʼafuluma ebweru; obudde bwali kiro.

31Yuda olwafuluma, Yesu nʼagamba nti, “Kaakano Omwana wʼOmuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye.

32Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

33“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.

34“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala.

35Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

36Awo Simooni Peetero nʼamubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?” Yesu nʼamuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”

37Peetero nʼamubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”

38Yesu nʼamuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>