Yokaana 14:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.

2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.

3Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.

4Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”

5Tomasi nʼamugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gyʼolaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”

6Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

7Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

8Firipo nʼamugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”

9Yesu nʼamugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’

10Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ngʼayita mu Nze.

11Kale munzikirize nti Ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olwʼemirimu gyokka.

12“Ddala ddala mbagamba nti Buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.

13Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.

14Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

15“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

16nange ndisaba Kitange nʼabawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe nʼemirembe,

17Mwoyo owʼAmazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.

18Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.

19Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu.

20Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.

21Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”

22Yuda, atali Isukalyoti nʼamugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?”

23Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.

24Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.

25Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.

26Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gwʼalituma mu linnya lyange, bwʼalijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.

27Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egyʼensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

28Mujjukire kye nʼabagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange yʼansinga ekitiibwa.

29Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize.

30Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi owʼensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza.

31Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange kyʼandagidde. Musituke tuve wano.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>