Yokaana 15:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1“Nze muzabbibu ogwʼamazima, ate Kitange ye mulimi.

2Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala.

3Mmwe kaakano muli balongoofu olwʼekigambo kye mbagambye;

4mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ngʼettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.

5“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola.

6Omuntu bwʼatabeera mu nze asuulibwa ebweru ngʼettabi erikaze. Amatabi ngʼago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.

7Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

8Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

9“Mbaagadde nga Kitange bwʼanjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange.

10Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe.

11“Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

12Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.

13Tewali kwagala kusinga okwʼomuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

14Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira.

15Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba.

16“Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala ebyʼolubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga.

17Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga.

18Ensi bwʼebakyawanga mumanye nti Yasooka kukyawa Nze.

19Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa.

20 Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange nʼebyammwe balibigondera.

21Ebyo byonna balibibakola ku lwʼerinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi.

22Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olwʼekibi kyabwe.

23Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange.

24Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, nʼokutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange.

25 Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’

26“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo owʼamazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako.

27Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>