2Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga nʼalowooza nti Aweereza Katonda.
3Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi.
4Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe.
5“Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali nʼomu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’
16Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo kyʼagamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ”
19Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza nʼabagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba?
20Ddala ddala mbagamba nti Mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate.
21Omukazi ngʼazaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bwʼamala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olwʼessanyu eryʼokuzaala omuntu mu nsi.
22Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali nʼomu aliribaggyako.
23Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange.
25Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange.
26Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange.
27Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti Nava eri Katonda.
28Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero.
30Kaakano tutegedde ngʼomanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31Yesu nʼabaddamu nti, “Kaakano mukkirizza?
32Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu nʼaddayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube nʼemirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”