Yokaana 17:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼayimusa amaaso ge nʼatunula eri eggulu, nʼayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, nʼomwana alyoke akugulumize,

2nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo.

3Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu owʼamazima, nʼoyo gwe watuma, Yesu Kristo.

4Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza.

5Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ngʼensi tennabeerawo.”

6“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye nʼobampa. Baali babo nʼobampa era bakkirizza ekigambo kyo.

7Bategedde nga buli kye nnina kiva gyʼoli,

8kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gyʼoli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma.

9Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo.

10Ngʼebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa.

11Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gyʼoli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.

12Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana owʼokubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”

13“Nange kaakano nzija gyʼoli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe nʼessanyu lyange nga lituukiridde mu bo.

14Mbawadde ekigambo kyo, ensi nʼebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.

15Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi.

16Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi.

17Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

18Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi.

19Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”

20“Sisabira bano bokka naye nsabira nʼabo abanzikiriza olwʼekigambo kyabwe,

21bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bwʼoli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma.

22Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.

23Nze nga ndi mu bo, era naawe ngʼoli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti Obaagala nga bwʼonjagala.”

24“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ngʼensi tennatondebwa.

25Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era nʼabayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma.

26Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kwʼonjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>