1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼafuluma nʼabayigirizwa be, ne balaga emitala wʼakagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro yʼemizeeyituuni, Yesu nʼabayigirizwa be ne bayingira omwo.
2Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ngʼali nʼabayigirizwa be.
3Awo Yuda nʼajja mu kifo ekyo ngʼali nʼekibinja kyʼabaserikale, nʼabaweereza ba Bakabona abakulu nʼabʼAbafalisaayo. Bajja nga balina ettaala nʼemimuli nʼebyokulwanyisa.
4Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, nʼavaayo nʼababuuza nti,
5Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu nʼabaddamu nti,
6Yesu bwe yabagamba nti,
7Yesu nʼababuuza omulundi ogwokubiri nti,
8Yesu nʼabaddamu nti,
9
10Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, nʼakisowolayo, nʼatema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu nʼamusalako okutu okwa ddyo. Erinnya lyʼomuddu oyo nga ye Maluko.
11Yesu nʼalagira Peetero nti,
12Awo ekibinja kyʼabaserikale nʼomuduumizi waabwe nʼabaweereza bʼAbayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba.
13Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.
14Kayaafa oyo, yʼoli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”
15Simooni Peetero nʼomuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa nʼagoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu,
16nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera nʼomuggazi wʼoluggi nʼayingiza Peetero.
17Omuwala omuggazi nʼabuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa bʼomuntu oyo?” Peetero nʼaddamu nti, “Nedda.”
18Obudde bwali bwa mpewo, abaddu nʼabaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ngʼayimiridde nabo ngʼayota omuliro.
19Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu nʼabuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.
20Yesu nʼamuddamu nti,
21
22Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo nʼamukuba oluyi nʼamugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”
23Yesu nʼamuddamu nti,
24Awo Ana nʼaweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.
25Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ngʼayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?” Nʼabaddamu nti, “Nedda.”
26Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda wʼoyo Peetero gwe yasalako okutu, nʼamubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?”
27Peetero nʼaddamu okwegaana. Amangwago enkoko nʼekookolima.
28Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogwʼokwetukuza, si ku lwa nga basubwa okulya Embaga yʼOkuyitako.
29Awo Piraato nʼafuluma ebweru gye baali nʼababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”
30Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gyʼoli.”
31Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”
32Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.
33Awo Piraato nʼaddayo mu lubiri nʼayita Yesu. Nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?”
34Yesu nʼaddamu nti,
35Piraato nʼamubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”
36Yesu nʼaddamu nti,
37Piraato nʼamubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu nʼamuddamu nti,
38Piraato nʼamubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bwʼatyo nʼafuluma ebweru eri Abayudaaya nʼabagamba nti, “Omuntu ono talina musango.
39Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka wʼAbayudaaya?”
40Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.