Yokaana 19:1-42 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Piraato nʼatwala Yesu nʼamukuba embooko.

2Abaserikale ne bakola engule eyʼamaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe,

3ne bajja wʼali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamukuba empi.

4Piraato nʼafuluma ebweru nate, nʼagamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.”

5Awo Yesu nʼafuluma ngʼatikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ngʼayambaziddwa olugoye olwʼeffulungu, Piraato nʼagamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”

6Awo bakabona abakulu nʼabaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!” Piraato nʼabagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”

7Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”

8Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya.

9Nʼazzaayo Yesu mu lubiri, nʼamubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu nʼatamuddamu kigambo.

10Piraato nʼamugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”

11Yesu nʼamuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze nʼakatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gyʼoli be balina ekibi ekisinga.”

12Okuva mu kiseera ekyo Piraato nʼasala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bwʼota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”

13Bwe baayogera batyo Piraato nʼazza Yesu ebweru gye bali, nʼatuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa.

14Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ezʼomu ttuntu. Piraato nʼagamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!”

15Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere!” Piraato nʼababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?” Bakabona ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”

16Piraato nʼabawa Yesu okumukomerera.

16Awo ne batwala Yesu;

17nʼafuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, nʼatuuka mu kifo ekiyitibwa ekyʼEkiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa.

18Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera nʼabalala babiri, omu eruuyi nʼomulala eruuyi, Yesu nʼabeera wakati waabwe.

19Piraato nʼakola ekiwandiiko nʼakiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti: “YESU Omunnazaaleesi, KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

20Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi nʼekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani.

21Awo bakabona abakulu abʼAbayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka wʼAbayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka wʼAbayudaaya.’ ”

22Piraato nʼaddamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

23Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale nʼafuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna,

24 abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.” Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti: Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.

24“Baagabana ebyambalo byange, nʼekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”

25Okumpi nʼomusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene.

26Yesu bwe yalaba nnyina, era nʼomuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ngʼayimiridde awo, nʼagamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.”

27Ate nʼagamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo nʼatwala nnyina Yesu eka ewuwe.

28Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, nʼayogera nti, “Ennyonta ennuma.”

29Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu.

30Bwe yakombako nʼagamba nti, “Kiwedde.” Nʼakutamya omutwe gwe nʼawaayo obulamu bwe.

31Olunaku nga bwe lwali olwʼokweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze bʼAbayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo.

32Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu gʼabasajja abaakomererwa ne Yesu.

33Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu.

34Naye omu ku baserikale nʼamufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi nʼamazzi.

35Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ngʼayogera mazima mulyoke mukkirize.

36 Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.”

37 Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”

38Ebyo bwe byaggwa, Yusufu owʼe Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olwʼokutya Abayudaaya, nʼasaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato nʼamukkiriza. Yusufu nʼaguwanulayo nʼagutwala.

39Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye nʼajja ngʼaleese kilo ngʼamakumi ataano ezʼebyakoloosa ebitabule nʼenvumbo.

40Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu nʼebyakaloosa ngʼempisa yʼAbayudaaya eyʼokuziika bwe yali.

41Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya eyʼempuku, eyali teziikibwangamu muntu.

42Nga bwe lwali olunaku lwʼAbayudaaya olwʼokweteekerateekera Ssabbiiti ate ngʼentaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>