Yokaana 2:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga eyʼobugole mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo.

2Yesu awamu nʼabayigirizwa be nabo baayitibwa.

3Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu nʼajja gyʼali nʼamugamba nti, “Tebakyalina wayini.”

4Yesu nʼamuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”

5Nnyina Yesu nʼagamba abaweereza nti, “Kyonna kyʼabagamba kye muba mukola.”

6Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olwʼomukolo gwʼAbayudaaya ogwʼokwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

7Yesu nʼagamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo.

8Awo nʼabagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu wʼabagabuzi.”

8Ne basena ne bamutwalira.

9Omukulu wʼabagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gyʼavudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, nʼayita omugole omusajja

10nʼamugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, nʼoluvannyuma ngʼabagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo nʼalyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gwʼosembezzaayo!”

11Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya, ngʼalaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.

12Embaga bwe yaggwa Yesu nʼadda e Kaperunawumu nʼabayigirizwa be nʼamalayo ennaku ntono ngʼali eyo ne nnyina ne baganda be.

13Embaga yʼAbayudaaya eyʼOkuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu nʼayambuka e Yerusaalemi.

14Nʼasanga mu Yeekaalu abaali batunda ente nʼendiga nʼamayiba era nʼabali bawaanyisa ensimbi.

15Awo Yesu nʼaddira emiguwa nʼagifunyaafunya ne giba ngʼembooko nʼagobawo endiga nʼente, nʼasaasaanya nʼensimbi ezʼabaali bawaanyisa, nʼavuunika nʼemmeeza zaabwe.

16Nʼakyukira abaali batunda amayiba nʼabagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale[2].”

17 Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bwʼEnnyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”

18Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki kʼotulaga nti olina obuyinza okukola bino?”

19Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”

20Ne bamuddamu nti, “Kiki kyʼotegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?”

21Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe.

22Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa nʼebigambo Yesu bye yayogerako.

23Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera ekyʼEmbaga eyʼOkuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye.

24Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna,

25kubanga yamanya bwʼafaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>