Yokaana 20:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Mu makya gʼolunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene nʼajja ku ntaana, ngʼobudde tebunnalaba bulungi, nʼalaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana.

2Nʼadduka nʼagenda eri Simooni Peetero nʼeri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo nʼabagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”

3Awo Peetero nʼomuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana.

4Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala nʼayisa Peetero nʼamusooka ku ntaana.

5Nʼakutama nʼalaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka nʼatayingira mu ntaana.

6Awo ne Simooni Peetero nʼatuuka, nʼayingira mu ntaana, nʼalaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo.

7Nʼalaba nʼekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali.

8Nʼomuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana nʼayingira. Nʼalaba era nʼakkiriza.

9Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.

10Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.

11Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru wʼentaana ngʼakaaba. Nʼakutama. Nʼalingiza mu ntaana nga bwʼakaaba,

12nʼalaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe nʼomulala emirannamiro wʼekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.

13Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?” Nʼabaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!”

14Bwe yamala okwogera ebyo, nʼakyuka nʼalaba Yesu ngʼayimiridde, kyokka nʼatamanya nti ye Yesu.

15Yesu nʼamubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?” Maliyamu nʼalowooza nti, Ye nannyini nnimiro nʼamugamba nti, “Ssebo, obanga gwʼomuggyeemu, mbuulira gyʼomutadde ŋŋende mmuggyeyo.”

16Yesu nʼamugamba nti, “Maliyamu!” Maliyamu nʼakyukira Yesu nʼamugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza,”

17Yesu nʼamugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”

18Maliyamu Magudaleene nʼagenda nʼabuulira abayigirizwa nga bwʼalabye Mukama waffe, era nʼabategeeza byʼamugambye.

19Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ngʼenzigi nsibe olwʼokutya Abayudaaya, Yesu nʼajja nʼayimirira wakati mu bo. Nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”

20Bwe yamala okwogera ebyo nʼabalaga ebibatu bye nʼembiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

21Nʼaddamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”

22Bwe yamala okwogera ebyo nʼabassiza omukka, nʼabagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu.

23Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”

24Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi nʼababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja.

25Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.” Ye nʼabagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ezʼemisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

26Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu nʼajja, enzigi nga nsibe, nʼayimirira wakati mu bo nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,”

27Awo nʼagamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28Tomasi nʼamuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

29Yesu nʼamugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”

30Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ngʼabayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino.

31Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olwʼokumukkiriza mulyoke mube nʼobulamu mu linnya lye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>