1Ebyo bwe byaggwa, Yesu nʼalabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja eyʼe Tiberiya.
2Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri owʼe Kaana ekyʼe Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, nʼabayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu.
3Simooni Peetero nʼabagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4Bwe bwali bukya, Yesu nʼayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5Yesu nʼababuuza nti,
6Yesu nʼabagamba nti,
7Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo nʼagamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi.
8Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala nʼolukalu, baali nga mita kyenda.
9Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogwʼamanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja nʼomugaati.
10Yesu nʼabagamba nti,
11Awo Simooni Peetero nʼagenda nʼawalula akatimba nʼakatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.
12Yesu nʼabagamba nti,
13Yesu nʼatoola omugaati nʼabagabira era nʼebyennyanja nʼakola bwʼatyo.
14Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ngʼamaze okuzuukira.
15Bwe baamala okulya, Yesu nʼagamba Peetero nti,
16Yesu nʼamubuuza omulundi ogwokubiri nti,
17Yesu nʼabuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti,
18
19Ekyo Yesu yakyogera ngʼalaga enfa Peetero gyʼalifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo nʼamugamba nti,
20Peetero bwe yakyuka, nʼalaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi nʼekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro ekyʼenkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?”
21Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22Yesu nʼamugamba nti,
23Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti Omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti Omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti,
24Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga byʼategeeza bya mazima.
25Waliwo nʼebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga nʼensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.