1Awo waaliwo omukulembeze wʼAbayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo,
2nʼajja eri Yesu ekiro okwogera naye. Nʼamugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga ebyʼamagero byʼokola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
3Yesu nʼamuddamu nti,
4Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?”
5Yesu kwe kumuddamu nti,
6
7
8
9Nikodemo nʼamubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
10Yesu nʼamuddamu nti,
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼabayigirizwa be ne bajja mu nsi yʼe Buyudaaya, nʼabeera eyo nabo, era nʼabatiza.
23Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ngʼabantu bangi bajja okubatizibwa,
24olwo nga tannateekebwa mu kkomera.
25Ne wabaawo empaka wakati wʼabayigirizwa ba Yokaana nʼOmuyudaaya ku nsonga eyʼokutukuzibwa.
26Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala wʼomugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gyʼali.”
27Yokaana nʼabaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu.
28Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera.
29Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ngʼamuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi lyʼoyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde.
30Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.”
31“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Owʼomu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi.
32Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza byʼategeeza.
33Naye oyo akkiriza byʼategeeza akakasa nti Katonda wa mazima.
34Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, nʼOmwoyo gwʼagaba tagerebwa.
35Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe.
36Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”