Yokaana 4:1-54 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti Abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ngʼabatiza bangi okusinga Yokaana,

2newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga,

3nʼava e Buyudaaya nʼaddayo e Ggaliraaya.

4Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya.

5Awo nʼatuuka mu kibuga kyʼe Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi nʼekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu.

6Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olwʼolugendo lwe yatambula, nʼatuula awo ku luzzi. Obudde bwali ngʼessaawa mukaaga ezʼomu ttuntu.

7Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu nʼamugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.”

8Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere.

9Awo omukazi Omusamaliya nʼamugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya.

10Yesu nʼamuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, nʼoyo akugamba nti Mpa nnywe ku mazzi bwʼali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11Omukazi nʼamugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, nʼoluzzi luwanvu nnyo.

12Ate nʼekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye nʼabaana be nʼensolo ze?”

13Yesu nʼamuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma.

14Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15Omukazi nʼamugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16Yesu nʼamugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17Omukazi nʼamuddamu nti, “Sirina baze!”

17Yesu nʼamugamba nti, “Oyogedde kituufu nti Tolina balo.

18Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gwʼolina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19Omukazi nʼagamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ngʼoli nnabbi.

20Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21Yesu nʼamugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.

22Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.

23Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.

24Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

25Omukazi nʼamugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bwʼalijja, alitutegeeza ebintu byonna.”

26Yesu nʼamugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

27Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ngʼayogera nʼomukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako.

28Awo omukazi nʼaleka awo ensuwa ye nʼagenda mu kibuga nʼategeeza abantu nti,

29“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?”

30Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.

31Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.”

32Nʼabaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”

33Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?”

34Yesu nʼabaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma byʼayagala, era nʼokutuukiriza omulimu gwe.

35Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse.

36Akungula asasulwa empeera ye era nʼakuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga nʼakungula balyoke basanyukire wamu.

37Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala nʼakungula,’ kyekiva kiba ekyʼamazima.

38Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”

39Abasamaliya bangi abʼomu kibuga abaamukkiririzaamu olwʼebyo omukazi bye yabategeeza, ngʼabagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!”

40Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, nʼabeera nabo ennaku bbiri.

41Bangi ne bakkiriza olwʼebyo bye yabategeeza.

42Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi wʼensi.”

43Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu nʼava e Samaliya nʼalaga e Ggaliraaya.

44Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gyʼasibuka.”

45Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza nʼessanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba ebyʼamagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga eyʼOkuyitako.

46Yesu nʼakomawo mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti owʼe Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde.

47Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, nʼagenda gyʼali nʼamusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi nʼokufa.

48Yesu nʼamugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”

49Omukungu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ngʼomwana wange tannafa!”

50Awo Yesu nʼamugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja nʼakkiriza Yesu kyʼamugambye nʼagenda.

51Naye bwe yali ngʼakyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti Mutabani we awonye.

52Nʼababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olwʼeggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”

53Awo Kitaawe wʼomulenzi nʼajjukira nga kyʼekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo nʼabʼenju ye bonna ne bakkiriza.

54Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ngʼakomyewo e Ggaliraaya ngʼavudde e Buyudaaya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>