1 Oluvannyuma Yesu nʼaddayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga zʼAbayudaaya.
2 Munda mu Yerusaalemi, okumpi nʼOmulyango gwʼEndiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola.
3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe bʼamaaso, nʼabakoozimbye.
4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama nʼajja nʼatabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa, ngʼawonyezebwa.
5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 Yesu bwe yamulaba nʼamanya nga bwʼamaze ebbanga eddene nga mulwadde, nʼamubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Omusajja omulwadde nʼamuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ngʼomulala yansoose dda.”
8 Yesu nʼamugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.”
9 Amangwago omusajja nʼawonyezebwa. Nʼazingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
10 Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 Ye nʼaddamu nti, “Omuntu amponyezza yʼaŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”
12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼamulaba mu Yeekaalu, nʼamugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”
15 Omuntu oyo nʼagenda nʼategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ngʼekyo ku Ssabbiiti.
17 Yesu nʼabaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18 Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
19 Awo Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko kyʼakola ku bubwe, wabula ekyo kyʼalaba Kitaawe ngʼakola. Kubanga ye byʼakola nʼOmwana byʼakola.
20 Kubanga Kitaawe wʼOmwana ayagala Omwana we era amulaga kyʼakola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino.
21 Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼazuukiza abafu, bwʼatyo nʼOmwana awa obulamu abo baayagala.
22 Era Kitaawe wʼOmwana talina nʼomu gwʼasalira musango, naye obuyinza obwʼokusala emisango gyonna yabuwa Omwana we,
23 abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 “Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu.
25 Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi lyʼOmwana wa Katonda, era nʼabaliwulira baliba balamu.
26 Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼalina obulamu mu ye, bwʼatyo bwe yawa Omwana okuba nʼobulamu mu ye,
27 era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana wʼOmuntu.
28 “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye
29 ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
30 Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bwʼaŋŋamba bwe nkola, era nʼomusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma byʼayagala.
31 Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima.
32 Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 “Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde ebyʼamazima.
34 Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe.
35 Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 “Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma
37 ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye.
38 Nʼekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39 Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti Muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.
40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 “Sinoonya kusiimibwa bantu.
42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda.
43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bwʼanajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza.
44 Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 “Naye temulowooza nti Ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.
46 Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako.
47 Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.