1Oluvannyuma lwʼebyo, Yesu nʼalaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta.
2Naye embaga yʼAbayudaaya eyitibwa eyʼEnsiisira yali eneetera okutuuka.
3Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero byʼokola.
4Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.”
5Baganda be nabo tebaamukkiriza.
6Yesu nʼabaddamu nti,
7
8
9Bwe yamala okubagamba ebyo nʼasigala mu Ggaliraaya.
10Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye nʼayambuka, mu kyama so si mu lwatu.
11Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”
12Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.”
13Kyokka olwʼokutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.
14Awo mu makkati gʼembaga Yesu nʼayambuka mu Yeekaalu nʼayigiriza.
15Abakulembeze bʼAbayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
16Awo Yesu kwe kubaddamu nti,
17
18
19
20Ekibiina kyʼabantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?”
21Yesu nʼaddamu nti,
22
23
24
25Awo abantu abamu abʼomu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta?
26Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti Omuntu ono Ye Kristo!
27Naye tumanyi omuntu ono gyʼava; so nga Kristo bwʼalijja tewaliba nʼomu amanya gyʼava.”
28Awo Yesu bwe yali ngʼakyayigiriza mu Yeekaalu nʼakangula ku ddoboozi nʼagamba nti,
29
30Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka.
31Naye bangi mu bibiina byʼabantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bwʼalijja, alikola ebyʼamagero ebisinga ebyʼono byakoze?”
32Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu nʼAbafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata.
33Awo Yesu nʼagamba nti,
34
35Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
36Ategeeza ki bwʼagamba nti,
37Awo ku lunaku olwʼembaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu nʼayimirira nʼayogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka nʼagamba nti,
38
39Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ngʼayogera bwʼatyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.”
41Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ngʼava mu Ggaliraaya.”
42Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali.
43Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu.
44Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
45Awo abaweereza bʼabakabona abakulu nʼAbafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu nʼAbafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?”
46Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo byʼayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.”
47Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza?
48Waliwo nʼomu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo?
49Naye ekibiina kyʼabantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
50Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, nʼabuuza nti,
51“Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera kyʼakoze?”
52Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
53Awo ne baabuka, buli omu nʼaddayo eka.