1 Awo Yesu nʼalaga ku lusozi olwa Zeyituuni.
2 Ku makya ennyo nʼakomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gyʼali, nʼatuula nʼabayigiriza.
3 Awo abannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ngʼayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso gʼekibiina.
4 Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ngʼayenda.
5 Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ngʼono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?”
6 Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.
6 Naye Yesu nʼakutama nʼawandiika ku ttaka nʼolunwe.
7 Bwe beeyongera okumubuuza, nʼakutaamulukuka, nʼagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako yʼaba asooka okumukuba ejjinja.”
8 Nʼaddamu okukutama, era nʼawandiika ku ttaka nʼolunwe.
9 Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu nʼomukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso gʼekibiina.
10 Awo Yesu nʼakutaamulukuka ate, nʼabuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”
11 Omukazi nʼamuddamu nti, “Mukama wange, tewali nʼomu.” Yesu nʼamugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
12 Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”
13 Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye byʼoyogera bya bulimba.”
14 Yesu nʼabaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga.
15 Mmwe musala omusango ngʼabantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango.
16 Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.
17 Amateeka gammwe gagamba nti Singa abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima.
18 Kale Nze nneyogerako era nʼoyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu nʼabaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ngʼayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
21 Awo Yesu ne yeeyongera, nʼabagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”
22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ”
23 Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno.
24 Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
25 Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” Yesu nʼabaddamu nti, “Lwaki mbategeeza?
26 Nnina bingi ebyʼokuboogerako nʼokubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gyʼali bye ntegeeza ensi.”
27 Kyokka tebaategeera Kitaawe gwʼayogerako.
28 Awo Yesu nʼabagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana wʼOmuntu ne mulyoka mutegeera nti Nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza.
29 Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bwʼomu, kubanga bulijjo nkola byʼayagala.”
30 Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.
31 Awo Yesu nʼagamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.
32 Era mulitegeera amazima, nʼamazima galibafuula ba ddembe.”
33 Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu nʼomu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
34 Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Buli akola ekibi aba muddu wa kibi.
35 Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna.
36 Kale, Omwana bwʼalibafuula abʼeddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.
37 Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza.
38 Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.”
39 Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu nʼabaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola.
40 Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ngʼekyo Ibulayimu teyakikola.
41 Mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 Yesu nʼabagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gyʼali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma.
43 Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange.
44 Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe byʼayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bwʼayogera ebyʼobulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe wʼabalimba.
45 Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza.
46 Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza?
47 Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
48 Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti Oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”
49 Yesu nʼabaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa.
50 Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era yʼalamula.
51 Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe nʼemirembe.”
52 Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti Oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe nʼemirembe.’
53 Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”
54 Yesu nʼaddamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe,
55 mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti Simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era nʼekigambo kye nkikuuma.
56 Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti Nzija era ne kimusanyusa.”
57 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egyʼobukulu nʼogamba nti Walaba Ibulayimu?”
58 Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”
59 Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka nʼafuluma mu Yeekaalu.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.