Yokaana 9:1-41 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, nʼalaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe wʼamaaso.

2Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe wʼamaaso?”

3Yesu nʼaddamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye.

4Kale kitugwanidde okukola emirimu gyʼoyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mwʼatasobolera kukola.

5Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”

6Yesu bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼawanda amalusu ku ttaka nʼatabula, nʼalisiiga ku maaso gʼomusajja oyo.

7Nʼamugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja nʼagenda, nʼanaaba, nʼadda ngʼalaba.

8Baliraanwa bʼoyo eyawonyezebwa era nʼabalala abaali bamumanyi nga muzibe wʼamaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ngʼasabiriza?”

9Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye nʼabagamba nti, “Ye nze ddala.”

10Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?”

11Nʼabategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka nʼalinsiiga ku maaso, nʼandagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”

12Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” Nʼaddamu nti, “Simanyi.”

13Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe wʼamaaso eri Abafalisaayo.

14Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka nʼazibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti.

15Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo nʼababuulira ngʼagamba nti, “Yesu yatabula ettaka nʼalinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”

16Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyʼamagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.

17Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe wʼamaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?” Omusajja nʼaddamu nti, “Ndowooza nnabbi.”

18Ne batakkiriza nti Omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be,

19ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ngʼoyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso.

21Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era nʼeyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.”

22Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti Buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro.

23Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

24 Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe wʼamaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”

25Omusajja nʼaddamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti Nnali muzibe wʼamaaso, naye kaakano ndaba.”

26Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”

27Omusajja nʼaddamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”

28Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.

29Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gyʼava.”

30Ye nʼaddamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso.

31Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola byʼayagala.

32Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.

33Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

34Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggwʼoyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.

35Yesu nʼategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga nʼamugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana wʼOmuntu?”

36Omusajja nʼamubuuza nti, “Ssebo, yʼaluwa mmukkirize?”

37Yesu nʼamugamba nti, “Omulabye, yewuuyo ayogera naawe.”

38Omusajja nʼagamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” Nʼamusinza.

39Awo Yesu nʼagamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”

40Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Kyʼogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”

41Yesu nʼabaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti Tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>